Psalms 103

Zabbuli Ya Dawudi.

1 aWeebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
era teweerabiranga birungi bye byonna.
3 bAsonyiwa ebibi byo byonna,
n’awonya n’endwadde zo zonna.
4Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5 cAwa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.
Empungu emanyiddwa olw’amaanyi gaayo n’olw’obuwangaazi bwayo.


6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

7 eYamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8 f Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9 gTaasibenga busungu ku mwoyo,
era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 hTatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 iNg’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 jEbibi byaffe abituggyako
n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13 kKitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 lKubanga amanyi nga bwe twakolebwa
era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 mWabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 nempewo ekifuuwa, ne kifa;
nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 oBe bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19 p Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20 qMwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
era abagondera ekigambo kye.
21 rMwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 sMwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Copyright information for LugEEEE